Zabbuli 12
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;  
abantu abeesigwa bonna baweddewo.   
2 Buli muntu alimba munne;  
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.   
   
 
3 Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,  
na buli lulimi olwenyumiriza;   
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,  
kubanga ani alitukuba ku mukono.”   
   
 
5 Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,  
n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,  
nnaasituka kaakano  
ne nnwanirira abo abalumbibwa.”   
6 Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.  
Bigeraageranyizibwa n’effeeza  
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.   
   
 
7 Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,  
n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.   
8 Ababi beeyisaayisa  
nga bagulumiza ebitaliimu nsa.