Zabbuli 13
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?  
Olikomya ddi okunkweka amaaso go?   
2 Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,  
n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?  
Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?   
   
 
3 Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;  
onzizeemu amaanyi nneme okufa.   
4 Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”  
abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.   
   
 
5 Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;  
era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.   
6 Nnaayimbiranga Mukama,  
kubanga ankoledde ebirungi.