Zabbuli 14
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,  
“Tewali Katonda.”  
Aboogera bwe batyo boonoonefu,  
bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.   
   
 
2 Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi  
ng’asinziira mu ggulu,  
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,  
era abanoonya Katonda.   
3 Naye bonna bakyamye  
boonoonese;  
teri akola kirungi,  
era teri n’omu.   
   
 
4 Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?  
Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;  
so tebakoowoola Mukama.   
5 Balitya nnyo!  
Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.   
6 Mulemesa entegeka z’omwavu,  
songa Mukama kye kiddukiro kye.   
   
 
7 Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!  
Mukama bw’alirokola abantu be,  
Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.