Zabbuli 15
Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?  
Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?   
   
 
2 Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,  
akola eby’obutuukirivu,  
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.   
3 Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,  
era mikwano gye tagiyisa bubi,  
so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.   
4 Anyooma ababi,  
naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.  
Atuukiriza ky’asuubiza  
ne bwe kiba nga kimulumya.   
5 Bw’awola tasaba magoba;  
so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.  
   
 
Oyo akola ebyo  
aliba munywevu emirembe gyonna.