Zabbuli 16
Ya Dawudi.
1 Onkuume, Ayi Katonda,
kubanga ggwe buddukiro bwange.
2 Nagamba Mukama nti, “Ggwe Mukama wange,
ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli.”
3 Abatukuvu abali mu nsi be njagala
era mu bo mwe nsanyukira.
4 Ennaku y’abo abagoberera bakatonda abalala
yeeyongera.
Siriwaayo ssaddaaka zaabwe ez’omusaayi,
wadde okusinza bakatonda baabwe.
5 Mukama, ggwe mugabo gwange,
era ggw’oliisa obulamu bwange; era ggw’olabirira ebyange.
6 Ensalo zange ziri mu bifo ebisanyusa,
ddala ddala omugabo omulungi.
7 Nnaatenderezanga Mukama kubanga annuŋŋamya
ne mu kiro ayigiriza omutima gwange.
8 Nkulembeza Mukama buli kiseera,
era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
siinyeenyezebwenga.
9 Noolwekyo omutima gwange gusanyuka, n’akamwa kange ne kajaguza;
era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe,
wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda.
11 Olindaga ekkubo ery’obulamu;
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.