Zabbuli 112
1 Mutendereze Mukama!
Alina omukisa omuntu atya Katonda,
era asanyukira ennyo mu mateeka ge.
2 Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;
omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.
3 Ennyumba ye enejjulanga ebintu n’obugagga obungi;
era anaabanga mutuukirivu ennaku zonna.
4 Ne mu kizikiza, ekitangaala kyakira omulongoofu,
alina ekisa, n’oyo alina okusaasira, era omutuukirivu.
5 Omuntu oyo agabira abeetaaga, era tawolera magoba,
era akola emirimu gye gyonna n’obwenkanya, alifuna ebirungi.
6 Omutuukirivu talinyeenyezebwa,
era anajjukirwanga ennaku zonna.
7 Amawulire amabi tegaamutiisenga,
kubanga omutima gwe munywevu gwesiga Mukama.
8 Omutima gwe guteredde, tewali ky’anaatyanga,
era oluvannyuma alitunuulira abalabe be n’amaaso ag’obuwanguzi.
9 Agabidde abaavu bye beetaaga;
mutuukirivu ebbanga lyonna;
era bonna banaamussangamu ekitiibwa.
10 Omubi anaabirabanga ebyo, n’asunguwala,
n’aluma abugigi, naye nga talina kya kukola.
Okwegomba kw’ababi tekuubengako kye kubagasa.