Zabbuli 113
1 Mutendereze Mukama!  
   
 
Mumutendereze, mmwe abaweereza be,  
mutendereze erinnya lya Mukama.   
2 Erinnya lya Mukama litenderezebwe  
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.   
3 Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa,  
erinnya lya Mukama litenderezebwenga.   
   
 
4 Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna,  
era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.   
5 Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,  
atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,   
6 ne yeetoowaza  
okutunuulira eggulu n’ensi?   
   
 
7 Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu;  
n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,   
8 n’abatuuza wamu n’abalangira,  
awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.   
9 Omukazi omugumba amuwa abaana,  
n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.  
   
 
Mutendereze Mukama!