Zabbuli 114
1 Isirayiri bwe yava mu Misiri,  
abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;   
2 Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,  
Isirayiri n’afuuka amatwale ge.   
   
 
3 Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;  
Omugga Yoludaani ne gudda emabega.   
4 Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,  
n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.   
   
 
5 Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?  
Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?   
6 Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,  
nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?   
   
 
7 Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,  
mu maaso ga Katonda wa Yakobo,   
8 eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,  
n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.