Zabbuli 125
Oluyimba nga balinnya amadaala. 
 
1 Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni  
olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.   
2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,  
ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,  
okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.   
   
 
3 Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira  
mu nsi y’abatuukirivu,  
baleme okuwaliriza abatuukirivu  
okukola ebibi.   
   
 
4 Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu  
bakolere ebirungi.   
5 Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,  
Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.  
   
 
Emirembe gibe ku Isirayiri.