Zabbuli 126
Oluyimba nga balinnya amadaala. 
 
1 Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni,  
twafaanana ng’abaloota.   
2 Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko,  
ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu.  
Amawanga ne gagamba nti,  
“Mukama abakoledde ebikulu.”   
3 Mukama atukoledde ebikulu,  
kyetuvudde tusanyuka.   
   
 
4 Otuzze obuggya, Ayi Mukama,  
tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.   
5 Abo abasiga nga bakaaba amaziga,  
baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.   
6 Oyo agenda ng’akaaba  
ng’atwala ensigo okusiga;  
alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu  
ng’aleeta ebinywa bye.