Zabbuli 127
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani. 
 
1 Mukama bw’atazimba nnyumba,  
abo abagizimba bazimbira bwereere.  
Mukama bw’atakuuma kibuga,  
abakuumi bateganira bwereere.   
2 Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,  
ate n’olwawo n’okwebaka  
ng’okolerera ekyokulya;  
kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.   
   
 
3 Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;  
era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.   
4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,  
n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.   
5 Alina omukisa omuntu oyo  
ajjuzza ensawo ye n’obusaale,  
kubanga tebaliswazibwa;  
balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.