Zabbuli 128
Oluyimba nga balinnya amadaala. 
 
1 Balina omukisa abatya Katonda;  
era abatambulira mu makubo ge.   
2 Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;  
oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.   
3 Mu nnyumba yo,  
mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;  
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni  
nga beetoolodde emmeeza yo.   
4 Bw’atyo bw’aweebwa emikisa  
omuntu atya Mukama.   
   
 
5 Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,  
era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi  
ennaku zonna ez’obulamu bwo.   
6 Owangaale olabe abaana b’abaana bo!  
   
 
Emirembe gibeere mu Isirayiri.