Zabbuli 129
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1 Isirayiri ayogere nti,
“Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2 Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
naye tebampangudde.
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4 kyokka Mukama mutuukirivu;
amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5 Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6 Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba,
oguwotoka nga tegunnakula.
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8 Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
“Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”