Zabbuli 130
Oluyimba nga balinnya amadaala. 
 
1 Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.   
2 Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;  
otege amatu go  
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.   
   
 
3 Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,  
ani eyandiyimiridde mu maaso go?   
4 Naye osonyiwa;  
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.   
   
 
5 Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira  
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.   
6 Emmeeme yange erindirira Mukama;  
mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;  
okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.   
   
 
7 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,  
kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;  
era y’alina okununula okutuukiridde.   
8 Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya  
mu byonoono bye byonna.