Zabbuli 131
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 
 
1 Ayi Mukama siri wa malala,  
so n’amaaso gange tegeegulumiza.  
Siruubirira bintu binsukiridde  
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.   
2 Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza  
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.  
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.   
   
 
3 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama  
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.