Zabbuli 136
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
 
Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
 
10 Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
 
13 Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
 
16 Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
 
17 Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
 
23 Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
 
26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,