Zabbuli 137
1 Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,
ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.
2 Ne tuwanika ennanga zaffe
ku miti egyali awo.
3 Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,
abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;
nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”
4 Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama
mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,
omukono gwange ogwa ddyo gukale!
6 Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange
singa nkwerabira,
ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako
okusinga ebintu ebirala byonna.
7 Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,
ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;
ne baleekaana nti, “Kisuule,
kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”
8 Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
yeesiimye oyo alikusasula ebyo
nga naawe bye watukola.
9 Yeesiimye oyo aliddira abaana bo
n’ababetentera ku lwazi.