Zabbuli 138
Zabbuli Ya Dawudi. 
 
1 Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;  
ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.   
2 Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,  
ne ntendereza erinnya lyo  
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;  
kubanga wagulumiza ekigambo kyo  
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.   
3 Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;  
n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.   
   
 
4 Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,  
nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.   
5 Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;  
kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.   
   
 
6 Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,  
naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.   
7 Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,  
naye ggwe okuuma obulamu bwange;  
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,  
era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.   
8 Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;  
kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.  
Tolekulira ebyo bye watonda.