Zabbuli 139
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
Omanyi amakubo gange gonna.
Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
okimanya nga sinnaba na kukyogera.
Ondi mu maaso n’emabega,
era ontaddeko omukono gwo.
Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
 
Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
ekiro kyakaayakana ng’emisana;
kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
 
13 Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
emirimu gyo gya kyewuunyo;
era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 Wammanya nga ntondebwa,
bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
oba okyandowoozaako.
 
19 Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 Abantu abo bakwogerako bibi;
bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
era mbayita balabe bange.
23 Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24 Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;
era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.