Zabbuli 140
Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,  
omponye abantu abakambwe;   
2 abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;  
abanoonya entalo buli kiseera.   
3 Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;  
ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.   
   
 
4 Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;  
omponye abantu abakambwe  
abateesa okunkyamya.   
5 Abantu ab’amalala banteze omutego;  
banjuluzza ekitimba kyabwe;  
ne batega emitego mu kkubo lyange.   
   
 
6 Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”  
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!   
7 Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,  
ggwe engabo yange mu lutalo.   
8 Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,  
era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;  
baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.   
   
 
9 Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe  
zibeekyusizeeko baboneebone.   
10 Amanda agaaka omuliro gabagwire;  
basuulibwe mu muliro,  
bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.   
11 Tokkiriza balimba kweyongera bungi;  
abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.   
   
 
12 Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.   
13 Abatuukirivu banaakutenderezanga,  
era w’oli we banaabeeranga.