Zabbuli 18
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.
1 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.
2 Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
3 Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
era amponya eri abalabe bange.
4 Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
5 Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
6 Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.
7 Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
kubanga yali asunguwadde.
8 Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
Omuliro ne guva mu kamwa ke,
ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
9 Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 Yeebagala kerubi n’abuuka,
n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.
16 Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 Bannumba nga ndi mu buzibu,
naye Mukama n’annyamba.
19 N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
kubanga yansanyukira nnyo.
20 Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
era nneekuuma obutayonoona.
24 Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.
25 Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 Owonya abawombeefu,
naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 Okoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.
30 Katonda byonna by’akola bigolokofu;
Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 Anjigiriza okulwana entalo,
ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
weetoowazizza n’ongulumiza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
obukongovvule bwange ne butanuuka.
37 Nagoba abalabe bange embiro,
ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,
ne mbalinnyako ebigere byange.
39 Ompadde amaanyi ag’okulwana;
abalabe bange ne banvuunamira.
40 Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 Baalaajana naye tewaali yabawonya;
ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.
43 Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
n’onfuula omufuzi w’amawanga.
Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 Olumpulira ne baŋŋondera,
bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 Bannamawanga baggwaamu omutima
ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
era akakkanya amawanga ne ngafuga.
Amponyeza abalabe bange.
48 Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’eri ezzadde lye.