Zabbuli 19
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
era liraga amagezi ge buli kiro.
Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
Naye obubaka bwabyo
bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
 
Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
bye galaba.
Okutya Mukama kirungi,
era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
era bya butuukirivu ddala.
10 Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.