Zabbuli 20
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.  
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.   
2 Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;  
akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.   
3 Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,  
era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.   
4 Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,  
era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.   
5 Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,  
ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.  
   
 
Mukama akuwenga byonna by’omusaba.   
   
 
6 Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,  
amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,  
ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.   
7 Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,  
naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.   
8 Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,  
naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.   
9 Ayi Mukama, lokola kabaka,  
otwanukule bwe tukukoowoola.