Zabbuli 30
Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,  
kubanga wannyimusa;  
n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.   
2 Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,  
n’omponya.   
3 Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,  
n’omponya ekinnya.   
   
 
4 Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;  
mutendereze erinnya lye ettukuvu.   
5 Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,  
naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.  
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka  
essanyu ne lijja nga bukedde.   
   
 
6 Bwe namala okunywera  
ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”   
7 Ayi Mukama, bwe wanjagala,  
wanyweza olusozi lwange;  
naye bwe wankweka amaaso go  
ne neeraliikirira.   
8 Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;  
ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.   
9 “Kingasa ki bwe nzika mu kinnya  
ne nzikirira?  
Enfuufu eneekutenderezanga  
n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?   
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;  
Ayi Mukama, onnyambe.”   
   
 
11 Ofudde okwaziirana kwange amazina;  
onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.   
12 Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.  
Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.