Zabbuli 31
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,  
leka nneme kuswazibwa.  
Ndokola mu butuukirivu bwo.   
2 Ontegere okutu kwo  
oyanguwe okunziruukirira.  
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi  
era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.   
3 Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;  
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.   
4 Omponye mu mutego gwe banteze;  
kubanga ggwe kiddukiro kyange.   
5 Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;  
ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.   
   
 
6 Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;  
nze nneesiga Mukama.   
7 Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,  
kubanga olabye okubonaabona kwange  
era omanyi ennaku endi ku mwoyo.   
8 Tompaddeeyo mu balabe bange,  
naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.   
   
 
9 Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;  
amaaso gange gakooye olw’ennaku;  
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.   
10 Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange  
ne giggwaawo olw’okusinda.  
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,  
n’amagumba ganafuye.   
11 Abalabe bange bonna bansekerera,  
banneetamiddwa.  
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,  
n’abandaba mu kkubo banziruka.   
12 Nneerabiddwa ng’eyafa edda;  
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.   
13 Buli ludda mpulirayo obwama  
nga bangeya;  
bye banteesaako  
nga basala olukwe okunzita.   
   
 
14 Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;  
nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”   
15 Entuuko zange ziri mu mikono gyo;  
ondokole mu mikono gy’abalabe bange  
n’abangigganya.   
16 Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;  
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.   
17 Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,  
kubanga nkukoowoola;  
leka abo ababi baswale,  
era bagalamire emagombe nga basirise.   
18 Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba  
kasirisibwe,  
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,  
nga babyogeza amalala n’okunyooma.   
   
 
19 Obulungi bwo,  
bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,  
n’obuwa mu lwatu  
abo abaddukira gy’oli.   
20 Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,  
n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,  
n’ennyombo z’abantu  
ne zitabatuukako.   
   
 
21 Mukama atenderezebwenga  
kubanga yandaga okwagala kwe okungi,  
bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.   
22 Bwe natya ennyo  
ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”  
Kyokka wampulira nga nkukaabirira  
n’onsaasira.   
   
 
23 Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!  
Mukama akuuma abo abamwesiga,  
naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.   
24 Muddeemu amaanyi mugume omwoyo  
mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.