Zabbuli 52
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.” 
 
1 Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?  
Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.   
2 Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.  
Olulimi lwo lwogi nga kkirita  
era buli kiseera lwogera bya bulimba.   
3 Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,  
n’okulimba okusinga okwogera amazima.   
4 Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.  
Ggwe olulimi kalimbira!   
   
 
5 Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;  
alikusikula, akuggye mu maka go;  
alikugoba mu nsi y’abalamu.   
6 Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.  
Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,   
7 “Mumulabe omusajja  
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,  
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,  
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”   
   
 
8 Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni  
ogukulira mu nnyumba ya Katonda.  
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo  
emirembe n’emirembe.   
9 Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.  
Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;  
era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.