Zabbuli 53
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,  
“Tewali Katonda.”  
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;  
tewali n’omu akola kirungi.   
2 Katonda atunuulira abaana b’abantu  
ng’asinziira mu ggulu,  
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera  
era abamunoonya.   
3 Bonna bamukubye amabega  
ne boonooneka;  
tewali akola kirungi,  
tewali n’omu.   
   
 
4 Aboonoonyi tebaliyiga?  
   
 
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;  
so tebakoowoola Katonda.   
5 Balitya okutya okutagambika;  
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.  
Baliswazibwa  
kubanga Katonda yabanyooma.   
   
 
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,  
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,  
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.