Zabbuli 54
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.” 
 
1 Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,  
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.   
2 Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,  
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.   
   
 
3 Abantu be simanyi bannumba;  
abantu abalina ettima abatatya Katonda;  
bannoonya okunzita.   
   
 
4 Laba, Katonda ye mubeezi wange,  
Mukama ye mukuumi wange.   
   
 
5 Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,  
obazikirize olw’obwesigwa bwo.   
   
 
6 Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;  
ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,  
kubanga ddungi.   
7 Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;  
era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.