Zabbuli 56
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi. 
 
1 Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;  
buli lunaku bannumba n’amaanyi.   
2 Abalabe bange bannondoola,  
bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.   
   
 
3 Buli lwe ntya,  
neesiga ggwe.   
4 Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,  
ye Katonda gwe neesiga; siityenga.  
Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?   
   
 
5 Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;  
ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.   
6 Beekobaana ne bateesa,  
banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;  
nga bannindirira banzite.   
7 Tobakkiriza kudduka ne bawona;  
mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.   
   
 
8 Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;  
amaziga gange gateeke mu ccupa yo!  
Wagawandiika.   
9 Bwe nkukoowoola,  
abalabe bange nga badduka.  
Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.   
   
 
10 Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;  
Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;   
11 Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.  
Abantu bayinza kunkolako ki?   
   
 
12 Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;  
ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.   
13 Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.  
Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;  
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda  
mu musana nga ndi mulamu?