Zabbuli 57
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka Sawulo, n’alaga mu mpuku. 
 
1 Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire,  
kubanga neesiga ggwe.  
Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo  
okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.   
   
 
2 Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo,  
Katonda atuukiriza bye yantegekera.   
3 Alisinzira mu ggulu n’andokola,  
n’amponya abo abampalana.  
Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.   
   
 
4 Mbeera wakati mu mpologoma,  
nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu.  
Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale.  
Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.   
   
 
5 Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu;  
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.   
   
 
6 Baatega ekitimba mu kkubo lyange,  
ne ntya nnyo;  
ne basimamu obunnya,  
ate bo bennyini ne babugwamu.   
   
 
7 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda,  
omutima gwange munywevu.  
Nnaakutenderezanga n’ennyimba.   
8 Zuukuka, ggwe omwoyo gwange!  
Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli,  
ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.   
   
 
9 Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga;  
ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.   
10 Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu;  
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.   
   
 
11 Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu;  
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.