Zabbuli 69
Ya Mukulu wa Bayimbi. Mu ddoboozi ery’Amalanga. Zabbuli ya Dawudi.
Ondokole, Ayi Katonda,
kubanga amazzi gandi mu bulago.
Ntubira mu bitosi
nga sirina we nnywereza kigere.
Ntuuse ebuziba
n’amataba gansaanikira.
Ndajanye ne nkoowa,
n’emimiro ginkaze.
Amaaso ganzizeeko ekifu gakooye
olw’okutunula enkaliriza nga nnindirira Katonda wange.
Abo abankyayira obwereere
bangi okusinga enviiri ez’oku mutwe gwange;
abalabe bange bangi
abannoonya okunzita awatali nsonga;
ne mpalirizibwa mbaddizeewo
ekyo kye sibbanga.
 
Ayi Katonda, omanyi obusirusiru bwange,
n’okusobya kwange tekukukwekeddwa.
 
Sisaana kuswaza
abo abakwesiga,
Ayi Mukama, Mukama ow’Eggye.
Abo abakunoonya
baleme kuswazibwa ku lwange,
Ayi Katonda wa Isirayiri.
Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
10 Bwe nkaaba ne nsiiba,
ekyo nakyo ne kinvumisa.
11 Bwe nnyambala ebibukutu ne nfuuka eky’okuzanyisa kyabwe.
12 Abo abatuula ku mulyango gw’ekibuga banduulira,
era nfuuse luyimba lw’abatamiivu.
 
13 Naye nze, Ayi Mukama, nsaba ggwe,
mu kiseera eky’ekisa kyo.
Olw’okwagala kwo okungi, onnyanukule, Ayi Katonda,
ondokole nga bwe wasuubiza.
14 Onnyinyulule mu ttosi
nneme okutubira;
omponye abankyawa,
onzigye mu mazzi amangi;
15 amataba galeme okumbuutikira
n’obuziba okunsanyaawo,
n’ennyanja ereme okummira.
 
16 Onnyanukule, Ayi Mukama olw’obulungi bw’okwagala kwo;
onkyukire olw’okusaasira kwo okungi.
17 Tokisa muddu wo maaso go; yanguwa okunziramu,
kubanga ndi mu kabi.
18 Onsemberere onziruukirire,
onnunule mu balabe bange.
 
19 Omanyi bwe nsekererwa, ne bwe nswazibwa ne bwe siteekebwamu kitiibwa,
era n’abalabe bange bonna obamanyi.
20 Okusekererwa kunkutudde omutima
era kummazeemu amaanyi.
Nanoonya okusaasirwa ne kumbula,
n’ow’okumpooyawooya naye nga simulaba.
21 Mu kifo ky’emmere bampa mususa,
era bwe nalumwa ennyonta bampa nkaatu.
 
22 Emmere yaabwe gye bategese okulya ebafuukire ekyambika,
n’embaga zaabwe ez’ebiweebwayo zibafuukire omutego.
23 Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.
24 Bayiweeko ekiruyi kyo,
obamalewo n’obusungu obw’amaanyi go obungi.
25 Ebifo byabwe bifuuke bifulukwa,
waleme kubaawo n’omu abeera mu weema zaabwe.
26 Kubanga bayigganya oyo gw’ofumise,
ne boogera ku bulumi bw’oyo gw’olumizza.
27 Bavunaane omusango kina gumu,
era tobaganya kugabana ku bulokozi bwo.
28 Bawanduukululwe mu kitabo ky’obulamu;
baleme kulabika ku lukalala lw’abatuukirivu.
 
29 Ndi mu bulumi era mu nnaku;
obulokozi bwo, Ayi Katonda, bunkuume.
30 Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda nga nnyimba;
nnaamugulumizanga n’okwebaza.
31 Kino kinaasanyusanga Mukama okusinga okumuwa ente ennume,
oba okumuwa seddume n’amayembe gaayo, n’ebigere byayo.
32 Abaavu banaakirabanga ne basanyuka;
mmwe abanoonya Katonda omutima gwammwe ne gubeera omulamu.
33 Kubanga Mukama awulira abo abali mu kwetaaga,
era ababe ne bwe baba mu busibe, tabanyooma.
 
34 Kale eggulu n’ensi bimutenderezenga
awamu n’ennyanja zonna n’ebyo ebizirimu.
35 Kubanga Katonda alirokola Sayuuni,
n’ebibuga bya Yuda n’abizimba buggya,
abantu ne babibeerangamu nga byabwe.
36 Abaana b’abaweereza be balikisikira;
n’abo abaagala erinnya lya Mukama omwo mmwe banaabeeranga.