Zabbuli 70
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza. 
 
1 Ayi Katonda oyanguwa okundokole.  
Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.   
   
 
2 Abo abannoonya okunzita  
batabulwetabulwe;  
abo abannoonya okunzikiriza,  
bagobebwe nga baswadde.   
3 Abagamba nti, “Kasonso,”  
badduke nga bajjudde ensonyi.   
4 Naye bonna abakunoonya  
basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.  
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,  
“Katonda agulumizibwenga!”   
   
 
5 Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;  
oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.  
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,  
Ayi Mukama, tolwa!