Zabbuli 7
Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini. 
 
1 Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:  
ngobaako bonna abangigganya era omponye,   
2 si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma  
ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.   
   
 
3 Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,  
era ng’engalo zange ziriko omusango,   
4 obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,  
oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:   
5 Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,  
bankube wansi banninnyirire,  
banzitire mu nfuufu.   
   
 
6 Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.  
Golokoka, Ayi Katonda wange,  
onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.   
7 Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;  
obafuge ng’oli waggulu ennyo.   
8 Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,  
asalira amawanga gonna emisango,  
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,  
era n’amazima agali mu nze bwe gali.   
9 Ayi Katonda omutukuvu,  
akebera emitima n’emmeeme;  
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:  
era onyweze abatuukirivu.   
   
 
10 Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;  
alokola abo abalina omutima omulongoofu.   
11 Katonda mulamuzi wa mazima;  
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.   
12 Mukama awagala ekitala kye  
n’aleega omutego gwe  
ogw’obusaale.   
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;  
era akozesa obusaale obw’omuliro.   
   
 
14 Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,  
n’azaala obulimba.   
15 Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;  
ate n’akigwamu ye kye yasimye.   
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;  
n’obukambwe bwe bumuddire.   
   
 
17 Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;  
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.