Zabbuli 8
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Ayi Mukama, Mukama waffe,  
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!  
   
 
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa  
okutuuka waggulu mu ggulu.   
2 Abaana abato n’abawere  
wabawa amaanyi okukutendereza;  
ne basirisa omulabe wo  
n’oyo ayagala okwesasuza.   
3 Bwe ntunuulira eggulu lyo,  
omulimu gw’engalo zo,  
omwezi n’emmunyeenye  
bye watonda;   
4 omuntu kye ki ggwe okumujjukira,  
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?   
   
 
5 Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;  
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.   
6 Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:  
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,   
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,   
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,  
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;  
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.   
   
 
9 Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi  
era kkulu nnyo mu nsi yonna!