Zabbuli 9
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi. 
 
1 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;  
nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.   
2 Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.  
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.   
   
 
3 Abalabe bange bazzeeyo emabega,  
beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.   
4 Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;  
era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.   
5 Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;  
erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.   
6 Abalabe obamaliddewo ddala,  
n’ebibuga byabwe obizikirizza,  
era tewali aliddayo kubijjukira.   
   
 
7 Naye Mukama afuga emirembe gyonna;  
era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.   
8 Aliramula ensi mu butuukirivu,  
era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.   
9 Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;  
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.   
10 Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;  
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.   
   
 
11 Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;  
mutegeeze amawanga gonna by’akoze.   
12 Ajjukira n’awoolera eggwanga  
era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.   
   
 
13 Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,  
onzigye ku miryango gy’okufa.   
14 Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu  
mu miryango gy’omuwala wa Sayuuni:  
era njagulizenga mu bulokozi bwo.   
   
 
15 Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;  
era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.   
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.  
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.   
17 Ababi balisuulibwa emagombe;  
ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.   
18 Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,  
era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.   
   
 
19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;  
leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.   
20 Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;  
amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.