Zabbuli 75
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba. 
 
1 Tukwebaza, Ayi Katonda.  
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.  
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.   
   
 
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera  
era nsala omusango gwa bwenkanya.   
3 Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,  
naye nze nywezezza empagi zaayo.”   
4 Nalabula ab’amalala bagaleke,  
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.   
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu  
n’okwogera nga muduula.   
   
 
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu  
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,   
7 wabula biva eri Katonda;  
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.   
8 Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe  
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;  
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi  
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.   
   
 
9 Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;  
nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.   
10 Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,  
naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.