Zabbuli 76
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu. 
 
1 Katonda amanyiddwa mu Yuda;  
erinnya lye kkulu mu Isirayiri.   
2 Eweema ye eri mu Yerusaalemi;  
era abeera mu Sayuuni.   
3 Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;  
n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.   
   
 
4 Owa ekitangaala,  
oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.   
5 Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,  
beebaka ne batasobola kugolokoka,  
ne watabaawo n’omu asobola  
okuyimusa omukono gwe.   
6 Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,  
abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.   
   
 
7 Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.  
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?   
8 Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,  
ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,   
9 bw’ogolokoka okusala omusango,  
okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.   
10 Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,  
n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.   
11 Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;  
bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,  
kubanga asaanidde okutiibwa.   
12 Mukama akkakkanya abalangira,  
ne bakabaka b’ensi bamutya.