Zabbuli 81
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu. 
 
1 Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;  
muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!   
2 Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa  
n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.   
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,  
era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.   
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,  
lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.   
5 Yaliteekera Yusufu,  
Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;  
gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.   
   
 
6 “Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;  
n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.   
7 Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,  
nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;  
ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.   
8 Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.  
Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!   
9 Temubeeranga na katonda mulala,  
wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.   
10 Nze Mukama Katonda wo,  
eyakuggya mu nsi y’e Misiri.  
Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.   
   
 
11 “Naye abantu bange tebampuliriza;  
Isirayiri teyaŋŋondera.   
12 Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,  
okugoberera ebyo bye baagala.   
   
 
13 “Singa abantu bange bampuliriza;  
singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,   
14 mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,  
ne mbawangula.   
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;  
ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.   
16 Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,  
ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”