Zabbuli 82
Zabbuli ya Asafu. 
 
1 Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,  
ng’alamula bakatonda.   
   
 
2 Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,  
nga musalira abanafu?   
3 Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;  
abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.   
4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;  
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.   
   
 
5 Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.  
Batambulira mu kizikiza;  
emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.   
   
 
6 Njogedde nti, Muli bakatonda,  
era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.   
7 “Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;  
muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”   
   
 
8 Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;  
kubanga amawanga gonna gago.