Zabbuli 95
1 Mujje tuyimbire Mukama;  
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.   
2 Tujje mu maaso ge n’okwebaza;  
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.   
   
 
3 Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;  
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.   
4 Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;  
n’entikko z’ensozi nazo zize.   
5 Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;  
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.   
   
 
6 Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;  
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.   
7 Kubanga ye Katonda waffe,  
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,  
era tuli ndiga ze z’alabirira.  
   
 
Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,   
8 “Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba,  
ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;   
9 bajjajjammwe gye bangezesa;  
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.   
10 Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;  
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,  
era tebamanyi makubo gange.’   
11 Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,  
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”