Zabbuli 96
1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;  
muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.   
2 Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,  
mulangirire obulokozi bwe buli lukya.   
3 Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,  
eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.   
   
 
4 Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;  
asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.   
5 Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;  
naye Mukama ye yakola eggulu.   
6 Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;  
amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.   
   
 
7 Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;  
mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.   
8 Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;  
muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.   
9 Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.  
Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.   
10 Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.  
Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;  
Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.   
   
 
11 Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;  
ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.   
12 Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;  
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.   
13 Kubanga Mukama ajja;  
ajja okusalira ensi omusango.  
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,  
n’abantu bonna abalamule mu mazima.